Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
13 verses
1Omponye, ai Mukama, eri omubi; Onkuume eri omutemu:
2Abayiiya ettima mu mutima gwabwe; Bakuŋŋaananga bulijjo okulwana.
3Basongodde olulimi lwabwe ng'omusota; Obusagwa bw'essalambwa buli wansi w'emimwa gyabwe. (Seera)
4Onkuume, ai Mukama, eri emikono gy'ababi; Omponye eri omutemu: Abateesezza okukyamya ebigere byange olw'amaanyi.
5Ab'amalala bantegedde omutego n'emigwa; Bayaze ekitimba mu kkubo: Bantegedde ebyambika. (Seera)
6Nagamba Mukama nti Ggwe oli Katonda wange: Owulire eddoboozi ery'okwegayirira kwange, ai Mukama.
7Ai Katonda Mukama, amaanyi ag'obulokozi bwange. Wambikka ku mutwe gwange ku lunaku olw'olutalo.
8Tokkiriza, ai Mukama, omubi by'ayagala; Toyamba lukwe lwe olubi; baleme okwegulumizanga. (Seera)
9Omutwe gwabwe abanneetooloola, Ettima ery'emimwa gyabwe bo libabikkengako.
10Amanda agookya gabagweko: Basuulibwe mu muliro; Mu bunnya obuwanvu, baleme okugolokokanga nate.
11Ayogera obubi taanywerenga mu nsi: Obubi bunaayigganyanga omutemu okumusuula.
12Mmanyi nga Mukama aliwoza omusango gw'abo ababonyaabonyezebwa, N'ensonga ey'abanaku.
13Abatuukirivu tebalirema kwebaza linnya lyo: Ab'amazima balituula w'oli.