Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
10 verses
1Mukama, nkukaabidde; oyanguwe okujja gye ndi: Owulire eddoboozi lyange, bwe nkukaabira.
2Okusaba kwange kuteekebwe mu maaso go ng'omugavu; Okugololwa kw'emikono gyange kube nga ssaddaaka ey'akawungeezi.
3Ossengawo okulabirira, ai Mukama, ku kamwa kange: Okuumenga omulyango gw'emimwa gyange.
4Tokyusanga mutima gwange eri ekibi kyonna. Okugenderera ebikolwa eby'obubi Awamu: n'abo abakola ebitali bya butuukirivu: So nnemenga okulya ku mmere yaabwe empoomerevu.
5Omutuukirivu ankubenga nga kwa kisa; Era ambuulirirenga, ng'amafuta ku mutwe; Omutwe gwange gulemenga okugagaana: Kuba newakubadde, mu bubi bwabwe okusaba kwange kunaabeererangawo.
6Abalamuzi baabwe basuulibwa ku mabbali g'ejjinja; Nabo baliwulira ebigambo byange; kubanga biwoomerevu.
7Ng'omuntu bw'akabala ng'atema ettaka, N'amagumba gaffe bwe gatyo gasaasaanidde ku kamwa k'amagombe.
8Kubanga amaaso gange gatunuulira ggwe, ai Katonda Mukama: Nkwesiga ggwe; toleka mmeeme yange nga teriiko anannyamba.
9Onkuume eri omutego gwe bantegedde, N'eri ebyambika by'abo abakola ebitali bya butuukirivu.
10Ababi bagwe mu bitimba byabwe bo, Naye nze nga mpona.