Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
7 verses
1Nkaabira Mukama n'eddoboozi lyange; N'eddoboozi lyange neegayirira Mukama.
2Nfuka mu maaso ge ebinneemulugunyisizza; Ndaga mu maaso ge ebinnakuwazizza;
3Omwoyo gwange bwe gwazirika munda yange, ggwe wamanya ekkubo lyange. Mu kkubo lye ntambuliramu bankwekeddemu omutego.
4Mutunule ku mukono gwange ogwa ddyo, mulabe; kubanga tewali muntu ammanyi: Ekiddukiro kimbuze; tewali muntu ayagala emmeeme yange:
5Nakukoowoola ggwe, ai Mukama; Nayogera nti Ggwe oli kiddukiro kyange, Omugabo gwange mu nsi ey'abalamu.
6Owulire okukaaba kwange; kubanga njeezebwa nnyo: Omponye eri abo abanjigganya; kubanga bansinga amaanyi.
7Oggyeemu emmeeme yange mu kkomera, neebazenga erinnya lyo: Abatuukirivu balinneetooloola; Kubanga olinkolera eby'ekisa ekingi.