Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
12 verses
1Owulire okusaba kwange, ai Mukama; otege okutu eri okwegayirira kwange. Mu bwesigwa bwo ompitabe, ne mu butuukirivu bwo.
2So tosalanga musango gwa muddu wo; Kubanga mu maaso go tewali muntu mulamu alisinga.
3Kubanga omulabe anjigganyizza emmeeme yange; Akubye obulamu bwange n'abusuula wansi: Antuuzizza mu bifo eby'enzikiza ng'abo abaafa edda.
4Omwoyo gwange kyeguvudde guzirika munda yange; Omutima gwange munda yange teguliiko anannyamba.
5Njijukira ennaku ez'edda; ndowooza ebikolwa byo byonna: Nfumiitiriza omulimu ogw'engalo zo.
6Nnyanjuluza engalo zange eri ggwe: Emmeeme yange ekulumirwa ennyonta, ng'ensi ekooye. (Seera)
7Oyanguwe okumpitaba, ai Mukama; omwoyo gwange guggwaawo: Tonkisa maaso go; nneme okufuuka ng'abo abakkira mu bunnya.
8Ompulizenga enkya ekisa kyo ekirungi; kubanga neesiga ggwe: Ontegeeze ekkubo eriŋŋwanira okutambuliramu; kubanga nnyimusa emmeeme yange eri ggwe.
9Omponye, ai Mukama, eri abalabe bange: Nziruka okujja w'oli okwekisa.
10Onjigirize okukolanga by'oyagala; kubanga ggwe oli Katonda wange: Omwoyo gwo mulungi; onnuŋŋamize mu nsi ey'obutuukirivu.
11Onzuukize, ai Mukama, olw'erinnya lyo: Mu butuukirivu bwo oggyemu emmeeme yange mu nnaku.
12Era mu kisa kyo ekirungi ozikirize abalabe bange, Omalewo bonna ababonyaabonya emmeeme yange; Kubanga ndi muddu wo.