Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
15 verses
1Yeebazibwe Mukama ejjinja lyange, Ayigiriza emikono gyange entalo, n'engalo zange okulwana.
2Ekisa kyange ekirungi era ekigo kyange, Ennyumba yange empanvu, era omulokozi wange; Engabo yange, era oyo gwe nneesiga, Ajeemulula abantu bange be ntwala.
3Mukama, omuntu kiki, ggwe okumumanya? Oba omwana w'omuntu, ggwe okumulowoozaako?
4Omuntu aliŋŋanga omukka: Ennaku ze ziriŋŋanga ekisiikirize ekiggwaawo.
5Okutamye eggulu lyo, ai Mukama, okke: Okwate ku nsozi, zinaanyooka.
6Okasuke enjota, obasaasaanye; Olase obusaale bwo, obateganye.
7Ogolole omukono gwo ng'oyima waggulu; Omponye, onziye mu mazzi amangi, mu mukono gwa bannaggwanga;
8Akamwa kaabwe koogera ebitaliimu, N'omukono gwabwe ogwa ddyo gwe mukono ogwa ddyo ogw'obulimba.
9Naakuyimbiranga ggwe oluyimba oluggya, ai Katonda: N'ennanga erina enkoba ekkumi naayimbanga okukutendereza.
10Ye wuuyo awa bakabaka obulokozi: Awonya Dawudi omuddu we eri ekitala ekiruma.
11Omponye, onziye mu mukono gwa bannaggwanga, Akamwa kaabwe koogera ebitaliimu, N'omukono gwabwe ogwa ddyo gwe mukono ogwa ddyo ogw'obulimba.
12Batabani baffe bwe baliba ng'emiti egikuze nga bakyali bavubuka; N'abawala baffe ng'amayinja ag'omu nsonda agabajjibwa nga bwe bagabajjira mu lubiri;
13Amawanika gaffe bwe galijjula, nga galina ebintu eby'engeri zonna; N'endiga zaffe bwe zirizaala enkumi n'obukumi ku ttale lyaffe;
14Ente zaffe bwe ziriba n'emigugu eminene; Nga tewali kuwagula, newakubadde okufuluma, So nga tewali kuyoogaana mu nguudo zaffe;
15Balina omukisa abantu ababeera bwe batyo: Balina omukisa abantu abalina Katonda waabwe ye Mukama.