Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
21 verses
1Naakugulumizanga, Katonda wange, ai Kabaka; Era neebazanga erinnya lyo emirembe n'emirembe.
2Buli lunaku naakwebazanga; Era naatenderezanga erinnya lyo emirembe n'emirembe.
3Mukama mukulu, era agwana okutenderezebwa ennyo N'obukulu bwe tebunoonyezeka.
4Emirembe ginaasuutanga emirimu gyo eri emirembe, Era ginaatenderanga ebikolwa byo eby'amaanyi.
5Ku bukulu obw'ekitiibwa obw'ettendo lyo, Ne ku mirimu gyo egy'ekitalo, kwe nnaalowoozanga.
6Era abantu banaayogeranga ku bikolwa byo eby'entiisa nga bya maanyi; Nange naategeezanga obukulu bwo.
7Banaayatulanga obulungi bwo obungi bwe bujjukirwa, Era banaayimbanga ku butuukirivu bwo.
8Mukama wa kisa ajjudde okusaasira; Alwawo okusunguwala era wa kusonyiwa kungi.
9Mukama mulungi eri bonna; N'okusaasira kwe okulungi kubuna emirimu gye gyonna.
10Emirimu gyo gyonna ginaakwebazanga, ai Mukama; N'abatukuvu bo banaakweyanzanga.
11Banaayogeranga ku kitiibwa eky'obwakabaka bwo, Banaanyumyanga ku buyinza bwo;
12Okumanyisanga abaana b'abantu ebikolwa bye eby'amaanyi, N'ekitiibwa eky'obukulu obw'obwakabaka bwe.
13Obwakabaka bwo bwe bwakabaka obutaliggwaawo, N'okufuga kwo kunaabeereranga emirembe gyonna.
14Mukama awanirira abagwa bonna, Era ayimiriza abakutama bonna.
15Amaaso g'ebintu byonna gakulindirira; Naawe obiwa emmere yaabyo mu ntuuko zaabyo.
16Oyanjuluza engalo zo, N’okkusa buli kintu kiramu bye kyagala.
17Mukama mutuukirivu mu makubo ge gonna, Era wa kisa mu mirimu gye gyonna.
18Mukama aba kumpi abo bonna abamukaabira, Bonna abamukaabira n'amazima.
19Anaatuukirizanga abo kye baagala abamutya; Era anaawuliranga okukaaba kwabwe anaabalokolanga.
20Mukama akuuma abo bonna abamwagala; Naye ababi bonna alibazikiriza.
21Akamwa kange kanaayogeranga ettendo lya Mukama; Era ne byonna ebirina emibiri byebazenga erinnya lye ettukuvu emirembe n'emirembe.