Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
10 verses
1Mumutendereze Mukama. Tendereza Mukama, ggwe emmeeme yange.
2Nga nkyali mulamu, naatenderezanga Mukama: Naayimbanga okutendereza Katonda wange nga nkyaliwo.
3Temwesiganga balangira, Newakubadde omwana w'omuntu, omutali buyambi bwonna.
4Omukka gwe gumuvaamu, n'adda mu ttaka lye; Ku lunaku olwo ebirowoozo bye ne bibula.
5Alina omukisa oyo alina Katonda wa Yakobo okuba omubeezi we, Asuubira Mukama Katonda we:
6Eyakola eggulu n'ensi, ennyanja, n'ebibirimu byonna; Akwata amazima ennaku zonna:
7Abatuukiririza omusango abajoogebwa; Awa emmere abalumwa enjala; Mukama asumulula abasibe;
8Mukama azibula amaaso g'abazibe; Mukama ayimiriza abakutama; Mukama ayagala abatuukirivu;
9Mukama akuuma bannaggwanga; Awanirira atalina kitaawe ne nnamwandu; Naye ekkubo ery'ababi alivuunikirira ddala.
10Mukama anaafuganga ennaku zonna, Katonda wo, ggwe Sayuuni, okutuusa emirembe gyonna. Mumutendereze Mukama.