Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
20 verses
1Mumutendereze Mukama; Kubanga kulungi okuyimba okutenderezanga Katonda waffe; Kubanga kwa ssanyu, era ettendo liwooma.
2Mukama azimbira ddala Yerusaalemi; Akuŋŋaanya wamu abagobebwa ab'omu Isiraeri.
3Awonya abalina emitima egimenyese, Era asiba ebiwundu byabwe.
4Abala emmunyeenye omuwendo gwazo; Azituuma zonna amannya gaazo.
5Mukama waffe mukulu, era obuyinza bwe bwa maanyi; Okutegeera kwe tekulowoozekeka.
6Mukama awanirira abawombeefu: Asindika wansi ababi.
7Mumuyimbire Mukama n'okwebaza; Muyimbe n'ennanga okutendereza Katonda waffe;
8Abikka ku ggulu n'ebire, Ateekerateekera ensi enkuba, Amereza omuddo ku nsozi.
9Awa ensolo emmere yaazo, Ne bannamuŋŋoona abato abakaaba.
10Tasanyukira maanyi ga mbalaasi: Teyeesiimira amagulu g'omuntu.
11Mukama yeesiimira abo abamutya, Abo abasuubira okusaasira kwe.
12Tendereza Mukama, ggwe Yerusaalemi; Tendereza Katonda wo, ggwe Sayuuni.
13Kubanga anywezezza ebisiba by'enzigi zo; Awadde omukisa abaana bo munda yo.
14Aleeta emirembe mu nsalo zo; Akujjuza obugimu obw'eŋŋaano.
15Aweereza ekiragiro kye ku nsi; Ekigambo kye kidduka embiro nnyingi.
16Agabula omuzira ng'ebyoya by'endiga; Amansira omusulo ogukutte empewo ng'evvu.
17Aweereza amazzi ge agakutte ng'obukunkumuka: Ani ayinza okuyimirira awali empewo ze?
18Atuma ekigambo kye, n'abisaanuusa: Akunsa empewo ze, amazzi ne gakulukuta.
19Alaga Yakobo ekigambo kye, Amateeka ge n'emisango gye eri Isiraeri.
20Takolanga bw'atyo ggwanga lyonna: N'emisango gye tebagimanyanga. Mumutendereze Mukama.