Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
14 verses
1Mumutendereze Mukama Mumutendereze Mukama, mmwe abayima mu ggulu: Mumutendereze mu bifo ebya waggulu.
2Mumutendereze, mmwe bamalayika be bonna: Mumutendereze, mmwe eggye lye lyonna.
3Mumutendereze, mmwe enjuba n'omwezi: Mumutendereze, mmwe emmunyeenye zonna ezaaka.
4Mumutendereze, mmwe eggulu ly'eggulu, Nammwe amazzi agali waggulu w'eggulu.
5Bitendereze erinnya lya Mukama: Kubanga yalagira, ne bitondebwa.
6Era yabinyweza okutuusa emirembe n'emirembe: Yateeka etteeka eritaridiba.
7Mumutendereze Mukama, mmwe abali mu nsi, Mmwe balukwata, n'ebifo byonna eby'obuziba:
8Omuliro n'omuzira, serugi n'omukka: Omuyaga ogutuukiriza ekigambo kye:
9Ensozi n'obusozi bwonna; Emiti egibala n'emivule gyonna:
10Ensolo n'ente zonna; Ebyewalula n'ennyonyi ezibuuka:
11Bakabaka b'ensi n'amawanga gonna; Abalangira n'abalamuzi bonna ab'ensi:
12Abavubuka n'abawala; Abakadde n'abato:
13Batendereze erinnya lya Mukama; Kubanga erinnya lye yekka lye ligulumizibwa: Ekitiibwa kye kiri kungulu ku nsi ne ku ggulu.
14Era agulumizizza ejjembe ery'abantu be, Ettendo eryabatukuvu be bonna; Be baana ba Isiraeri, abantu abamuli okumpi: Mumutendereze Mukama.