Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
5 verses
1Mukama, anaatuulanga mu weema yo ye ani? Anaabeeranga ku lusozi lwo olutukuvu ye ani?
2Oyo atambulira mu bugolokofu, era akola obutuukirivu, Era ayogera eby'amazima mu mutima gwe.
3Atawaayiriza n'olulimi lwe, So mukwano gwe tamukola bubi, So takkiriza kibi ku muliraanwa we.
4Amaaso ge ganyooma omubi; Naye abatya Mukama abassaamu ekitiibwa. Bw'alayira ne bw'afiirwa takyuka.
5Atawolera bintu bye magoba. So taweebwa mpeera ku atalina musango. Oyo akola ebyo taasagaasaganenga emirembe gyonna.