Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
15 verses
1Wulira ensonga ey'obutuukirivu, ai Mukama, lowooza okukaaba kwange; Tega okutu owulire okusaba kwange, okutava mu mimwa egy'obukuusa.
2Omusango gwange guve w'oli; Amaaso go gatunuulire obutuukirivu.
3Wagezaako omutima gwange; wajja gye ndi ekiro; Wankema, n'otolaba kigambo; Mmaliridde akamwa kange obutayonoonanga.
4Mu bikolwa by'abantu, olw'ekigambo eky'emimwa gyo Neekuumanga mu makubo ag'abantu abalina ekyejo
5Olugendo lwange lwanywera mu makubo go, Ebigere byange tebiseereranga.
6Nkukoowodde, kubanga ggwe ononziramu, ai Katonda: Ontegere okutu kwo, ompulire bye njogera.
7Laga ekisa kyo eky'ekitalo, ggwe alokola abakwesiga, Mu abo ababagolokokerako, n'omukono gwo ogwa ddyo.
8Onkuume ng'emmunye ey'eriiso, Onkise mu kisiikirize eky'ebiwawaatiro byo,
9Mu babi abannyaga, Mu balabe bange abaagala okunzita, abanzingiza.
10Babikkiddwa amasavu gaabwe: N'akamwa kaabwe boogera eby'amalala.
11Kaakano batuzingizizza mu bigere byaffe: Bakaliriza amaaso gaabwe okutusuula wansi.
12Afaanana ng'empologoma eyaayaanira omuyiggo gwayo, Era ng'omwana gw'empologoma ogw'ekisa we guteegera.
13Golokoka, ai Mukama, Omuyimirire mu maaso, omumegge wansi: Omponye emmeeme yange eri omubi n'ekitala kyo;
14Eri abantu n'omukono gwo, ai Mukama, Eri abantu ab'ensi, abalina omugabo gwabwe mu bulamu buno, N'olubuto lwabwe olujjuza obugagga bwo: Banyiye abaana, N'ebintu byabwe ebisigalawo babirekera abaana baabwe.
15Nze amaaso go ndigalaba mu butuukirivu: Ndimatira bwe ndizuukuka n'ekifaananyi kyo.