Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
50 verses
1Nkwagala ggwe, ai Mukama, amaanyi gange.
2Mukama lwe lwazi lwange, era kye kigo kyange, era ye andokola; Katonda wange, olwazi lwange olunywevu, oyo gwe ŋŋenda okwesiganga; Engabo yange, n'ejjembe ery'obulokozi bwange, ekigo kyange ekigulumivu.
3Naakoowoolanga Mukama, asaanira okutenderezebwa: Bwe nnaalokokanga bwe ntyo mu balabe bange.
4Emigwa egy'okufa gyansiba, N'ebitaba eby'obutatya Katonda byantiisa.
5Emigwa egy'emagombe gyanneetooloola: Emitego egy'olumbe gyankwasa.
6Mu nnaku zange ne nkoowoola Mukama, Ne mpita Katonda wange: N'awulira eddoboozi lyange mu yeekaalu ye, Ne bye nnakaabira mu maaso ge ne bituuka mu matu ge.
7Ensi n'eryoka ekankana n'esagaasagana, Era n'emisingi gy'ensozi ne gikankana ne ginyeenyezebwa, Kubanga asunguwadde.
8Omukka ne gunyooka mu nnyindo ze, N'omuliro ne guva mu kamwa ke ne gulya: Ne gukoleeza amanda.
9Era n'eggulu n'alikutamya, n'akka; N'ekizikiza ekinene ne kiba wansi w'ebigere bye.
10Ne yeebagala kerubi n'abuuka: Era n'abuuka mangu ku biwaawaatiro eby'empewo.
11Ekizikiza n'akifuula eky'okwekwekamu, eweema ye emwetoolodde; Ekizikiza eky'amazzi, ebire ebikutte eby'omu ggulu.
12Mu kumasamasa okuli mu maaso ge ebire bye ebikutte ne biyita, Ne waba amayinja ag'omuzira n'amanda ag'omuliro.
13Era Mukama n'abwatuka mu ggulu N'oyo ali waggulu ennyo n'aleeta eddoboozi lye; Ne waba amayinja ag'omuzira n'amanda ag'omuliro.
14N'alasa obusaale bwe n'abasaasaanya; N'alasa enjota nnyingi n'abeeraliikiriza.
15Ensalosalo ez'amazzi ne ziryoka zirabika, Emisingi gy'ensi ne gyeruka, Mu kunenya kwo, ai Mukama, Mu kibuyaga ow'omukka ogw'ennyindo zo,
16Yatuma okuva waggulu, n'antwala; N'ampalula mu mazzi amangi.
17Yamponya eri mulabe wange ow'amaanyi, N'eri abo abankyawa, kubanga bansinza amaanyi nze.
18Banjijira ku lunaku olw'akabi kange: Naye Mukama ye yannyweza.
19Era n'anfulumya mu kifo ekigazi; Yamponya, kubanga yansanyukira.
20Mukama yampa empeera ng'obutuukirivu bwange bwe bwali; Ng'emikono gyange bwe giri emirungi, bw'ansasudde.
21Kubanga nakwata amakubo ga Mukama, Ne ssireka Katonda wange n'obubi.
22Kubanga emisango gye gyonna gyali mu maaso gange, So amateeka ge saagaggyaawo gye ndi.
23Era nali eyatuukirira gy'ali. Ne nneekuuma mu bubi bwange.
24Mukama kyavudde ansasula, ng'obutuukirivu bwange bwe buli, Emikono gyange nga bwe giri emirungi mu maaso ge.
25Eri ow'ekisa oneeraga ow'ekisa; Eri eyatuukirira oneeraganga eyatuukirira;
26Eri omulongoofu oneeraganga omulongoofu; N'eri omukakanyavu oneeraganga aziyiza.
27Kubanga onoolokolanga abantu abajoogebwa; Naye amaaso ag'amalala onoogatoowazanga.
28Kubanga ggwe olikoleeza ettabaaza yange. Mukama Katonda wange alimulisa mu kizikiza kyange.
29Kubanga mu kubeerwa kwo nnumba ekibiina; Era mu kuyamba kwa Katonda wange mbuuka ekigo.
30Katonda, ekkubo lye lyatuukirira: Ekigambo kya Mukama kyakettebwa; Oyo ye ngabo y'abo bonna abamwesiga.
31Kubanga ani Katonda, wabula Mukama? Era ani olwazi, wabula Katonda waffe?
32Katonda ansibya amaanyi, Era atuukiriza ekkubo lyange.
33Afuula ebigere byange ng'eby'empeewo: Era angulumiza mu bifo byange ebya waggulu.
34Anjigiriza engalo zange okulwana; Emikono gyange ne gireega omutego ogw'ekikomo.
35Era ompadde engabo ey'obulokozi bwo: N'omukono gwo ogwa ddyo gumpaniridde, N'obuwombeefu bwo bungulumizizza.
36Ongaziyirizza ekkubo ery'ebigere byange, N'ebisinziiro byange tebiseereranga.
37Ndigoberera abalabe bange, ne mbatuukako: So ssirikomawo nga tebannazikirizibwa.
38Ndibafumitira ddala ne batayinza kuyimuka: Baligwa wansi w'ebigere byange.
39Kubanga onsibye amaanyi ag'okulwana: Obafukamizza mu maaso gange abannyimukirako.
40Era abalabe bange obakyusizza amabega gaabwe gye ndi, Ndyoke nzikirize abankyawa.
41Baakoowoola, naye tewaali mulokozi: Baakoowoola Mukama, naye n'atabaddamu.
42Ne ndyoka mbasekulasekula ng'enfuufu etwalibwa empewo: Ne mbasuula ng'ebitosi eby'omu nguudo.
43Omponyezza mu kuyomba kw'abantu; Onfudde omutwe gw'amawanga; Abantu be ssaamanyanga balimpeereza.
44Bwe baliwulira ebigambo byange, ne balyoka baŋŋondera: Bannaggwanga balinjeemulukukira.
45Bannaggwanga baliggwaawo, Baliva mu bifo byabwe eby'okwekwekamu nga bakankana.
46Mukama mulamu; olwazi lwange atenderezebwe; Era agulumizibwe Katonda ow'obulokozi bwange :
47Ye Katonda ampalanira eggwanga Era awangula amawanga ngafuge.
48Amponya eri abalabe bange: Weewaawo, ongulumiza ku abo abannyimukirako: Ondokola eri omuntu ow'ekyejo
49Kyennaavanga nkwebaza ggwe, ai Mukama, mu mawanga, Naayimbanga okutendereza erinnya lyo.
50Obulokozi bukulu bw'awa kabaka we; Era amukolera eby'ekisa oyo gwe yasiiga amafuta, Dawudi n'ezzadde lye, emirembe n'emirembe.