Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
14 verses
1Eggulu lyogera ekitiibwa kya Katonda: N'ebbanga libuulira emirimu gy'emikono gye.
2Omusana gugamba ebigambo omusana, N'ekiro kiraga amagezi ekiro.
3Siwali bigambo newakubadde olulimi; Eddoboozi lyabyo teriwulikika.
4Okuyigiriza kwabyo kubunye mu nsi zonna, N'ebigambo byabyo okutuuka ku nkomerero y'ensi. Abiteekeddemu enjuba eweema,
5Eri ng'awasa omugole ng'ava mu nju ye, Era esanyuka ng'ow'amaanyi okuyita mu lugendo lwayo.
6Evaayo ku nkomerero y'eggulu, Ne yeetooloola okutuuka ku nkomerero yaalyo: So tewali kintu ekikwekebwa mu kwokya kwayo.
7Etteeka lya Mukama lyatuukirira, erikomyawo emmeeme: Okutegeeza kwa Mukama kunywevu, okuwa abasirusiru amagezi.
8Okuyigiriza kwa Mukama kwabutuukirivu, okusanyusa omutima: Ekiragiro kya Mukama kirongoofu, ekyakira amaaso.
9Entiisa ya Mukama nnungi, ya lubeerera emirembe gyonna: Emisango gya Mukama gya mazima, gya butuukirivu ddala:
10Bisaanira okubiyaayaanira okusinga ezaabu, era n'ezaabu ennyingi ennungi: Biwoomerera okusinga omubisi gw'enjuki n'ebisenge byagwo.
11Era ebyo bye birabula omuddu wo: Mu kubyekuuma mulimu empeera ennene.
12Ani ayinza okukebera ebyonoono bye? Onnongoose mu bibi ebikisibwa.
13Era ne mu by'amalala oziyize omuddu wo; Bireme okumpangula: bwe ntyo bwe nnaabanga eyatuukirira, So omusango ogw'okwonoona okunene tegulinsinga.
14Ebigambo eby'omu kamwa kange n'okulowooza okw'omu mutima gwange bisiimibwe mu maaso go, Ai Mukama, olwazi lwange, era omununuzi wange.