Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
9 verses
1Mukama akuddemu ku lunaku olw'okunakuwala; Erinnya lya Katonda wa Yakobo likugulumizenga waggulu;
2Akuweerezenga okubeerwa mu kifo ekitukuvu, Akuwenga amaanyi agava mu Sayuuni;
3Ajjukirenga bye wawaayo byonna, Akkirizenga ssaddaaka yo enjokye; (Seera)
4Akuweenga omutima gwo kye gwagala, Atuukirizenga okuteesa kwo kwonna.
5Tunaawangulanga mu bulokozi bwo, Ne mu linnya lya Katonda waffe tunaawanikanga ebendera zaffe: Mukama atuukirizenga by'osaba byonna.
6Kaakano mmanyi nga Mukama alokola oyo gwe yasiiga amafuta; Alimuddamu ng'ayima mu ggulu lye ettukuvu N'obulokozi obuwonya obw'omukono gwe ogwa ddyo.
7Abalala beesiga amagaali, n'abalala beesiga embalaasi: Naye ffe tunaayogeranga erinnya lya Mukama Katonda waffe.
8Bakutamye bo ne bagwa: Naye ffe tugolokose, ne tuyimirira.
9Lokola, Mukama: Kabaka atuddemu bwe tukoowoola.