Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
13 verses
1Kabaka anaasanyukiranga amaanyi go, ai Mukama; N'obulokozi bwo ng'anaabujagulizanga nnyo!
2Omuwadde omutima gwe kye gwagala, So tomummye emimwa gye kye gisabye. (Seera)
3Kubanga omusisinkanye n'eby'omukisa eby'obulungi: Omuteekako ku mutwe gwe engule ey'ezaabu ennungi.
4Yakusaba obulamu, n'obumuwa; Era n'ennaku ennyingi ez'emirembe n'emirembe.
5Ekitiibwa kye kingi mu bulokozi bwo: Ekitiibwa n'obukulu obimussaako.
6Kubanga omuteekawo okuba omukisa omungi emirembe gyonna: Omusanyusa essanyu mu maaso go.
7Kubanga kabaka yeesiga Mukama, N'olw'ekisa ky'oyo ali waggulu ennyo taasagaasaganenga.
8Omukono gwo gulituuka ku balabe bo bonna: Omukono gwo ogwa ddyo gulituuka ku abo abakukyawa.
9Olibafaananya ng'ekikoomi ekyaka mu biro eby'obusungu bwo. Mukama alibamira mu kiruyi kye, N'omuliro gulibalya.
10Ebibala byabwe olibizikiriza ku nsi, N'ezzadde lyabwe mu baana b'abantu.
11Kubanga baakuteeseza obubi: Baasala olukwe, lwe bataayinza kukola.
12Kubanga olibazza ennyuma, Oliteekateeka engoye zo ez'omutego ku maaso gaabwe.
13Ogulumizibwenga, ai Mukama, mu maanyi go: Tulyoke tuyimbenga tutenderezenga obuyinza bwo.