Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
10 verses
1Ensi ya Mukama, n'okujjula kwayo; Ensi zonna, n'abo abazituulamu.
2Kubanga yagisimba ku nnyanja, Yaginyweza ku mazzi amangi.
3Ani alirinnya ku lusozi lwa Mukama? Era ani aliyimirira mu kifo kye ekitukuvu?
4Oyo alina emikono emirungi, n'omutima omulongoofu; Atayimusanga mmeeme ye eri ebitaliimu, So teyalayiriranga bwereere.
5Oyo anaaweebwanga Mukama omukisa, Era n'obutuukirivu anaabuweebwanga Katonda ow'obulokozi bwe.
6Egyo gye mirembe gy'abo abamunoonya, Abanoonya amaaso go, ai Katonda wa Yakobo. (Seera)
7Muyimuse emitwe gyammwe, mmwe enzigi; Nammwe muyimuke, mmwe bawankaaki abataggwaawo: Ne kabaka ow'ekitiibwa anaayingira.
8Kabaka ow'ekitiibwa ye ani? Mukama ow'amaanyi ow'obuyinza Mukama ow'obuyinza mu kulwana.
9Muyimuse emitwe gyammwe, mmwe enzigi; Kale, mugiyimuse, mmwe bawankaaki abataggwaawo: Ne Kabaka ow'ekitiibwa anaayingira.
10Kabaka oyo ow'ekitiibwa ye ani? Mukama ow'eggye, Oyo ye Kabaka ow'ekitiibwa. (Seera)