Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
22 verses
1Gy'oli, ai Mukama, nnyimusiza emmeeme yange.
2Ai Katonda wange, naakwesiganga ggwe, Toŋŋanya kukwatibwa nsonyi; Abalabe bange tobaganya kumpangula.
3Era siwali akulindirira anaakwatibwanga ensonyi: Abo banaakwatibwanga ensonyi abasala enkwe ez'obwereere.
4Ondage amakubo go, ai Mukama; Onjigirize empenda zo.
5Onnuŋŋamye mu mazima go, onjigirize; Kubanga ggwe oli Katonda ow'obulokozi bwange; Ggwe gwe nnindirira obudde okuziba.
6Jjukira, ai Mukama, okusaasira kwo okulungi n'ekisa kyo; Kubanga byaliwo edda n'edda lyonna.
7Tojjukira bibi bya buvubuka bwange, newakubadde ebyonoono byange: Onjijukire ng'ekisa kyo bwe kiri, Olw'obulungi bwo, ai Mukama.
8Mukama ye mulungi era wa mazima: Kyanaavanga ayigiriza ekkubo abalina ebibi.
9Abawombeefu anaabaluŋŋamyanga mu musango: Era abawombeefu anaabayigirizanga ekkubo lye.
10Amakubo gonna aga Mukama kye kisa n'amazima Eri abo abeekuuma endagaano ye n'okutegeeza kwe:
11Olw'erinnya lyo, ai Mukama, Onsonyiwe obubi bwange, kubanga bunene.
12Omuntu atya Mukama aluwa? Oyo gw'anaayigirizanga mu kkubo ly'anaasiimanga.
13Emmeeme ye eneetuulanga mu mirembe; N'ezzadde lye linaasikiranga ensi.
14Ekyama kya Mukama kiri mu abo abamutya; Era anaabalaganga endagaano ye.
15Amaaso gange gatunuulira Mukama ennaku zonna; Kubanga ye anaggyanga ebigere byange mu kyambika.
16Onkyukire, onsaasire; Kubanga ndekeddwa omu ne mbonaabona.
17Ennaku ez'omutima gwange zeeyongedde: Kale onziye mu bibonoobono byange.
18Lowooza ennaku zange n'okutegana kwange; Era onsonyiwe ebibi byange byonna.
19Lowooza abalabe bange, kubanga bangi; Era bankyawa obukyayi obukambwe.
20Kale onkuumenga emmeeme yange, omponyenga: Toŋŋanyanga kukwatibwa nsonyi, kubanga nkwesiga ggwe.
21Obutuukirivu n'amazima binkuumenga, Kubanga nnindirira ggwe.
22Nunula Isiraeri, ai Katonda, Mu bibonoobono bye byonna.