Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
12 verses
1Onsalire omusango, ai Mukama, kubanga natambuliranga mu butuukirivu bwange: Era neesiganga Mukama obutabuusabuusa.
2Onkebere, ai Mukama, onkeme; Ongezeeko emmeeme yange n'omutima gwange.
3Kubanga ekisa kyo kiri mu maaso gange; Era natambuliranga mu mazima go.
4Saatuulanga wamu na bantu abataliimu; So ssiiyingirenga wamu na bakuusakuusa.
5Ekibiina ky'abo abakola obubi nkikyawa, So siituulenga wamu na babi.
6Naanaabanga mu ngalo zange mu butayonoona; Bwe nneetooloolanga bwe ntyo ekyoto kyo, ai Mukama:
7Ndyoke mpulirizenga eddoboozi ery'okwebaza, Njogerenga ku bikolwa byo byonna eby'ekitalo:
8Mukama, njagala ekisulo eky'omu nnyumba yo, N'ekifo ekitiibwa kyo kye kituulamu,
9Tonoga mmeeme yange wamu n'abalina ebibi, Newakubadde obulamu bwange wamu n'abantu ab'omu nsi:
10Emikono gyabwe girimu ettima, N'omukono gwabwe ogwa ddyo gujjudde enguzi.
11Naye nze naatambuliranga mu butuukirivu bwange: Onnunule, era onsaasire.
12Ekigere kyange kiyimiridde mu kifo ekitereevu: Mu bibiina neebazanga Mukama.