Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
9 verses
1Ggwe, ai Mukama, naakukoowoolanga; Olwazi lwange, togaana kumpulira: Nneme okuba ng'abo abakka mu bunnya, Oba nga ononsiriikirira.
2Wulira eddoboozi ery'okwegayirira kwange, bwe nkukaabirira, Bwe nnyimusa emikono gyange eri ekifo ekitukuvu ky'oyogereramu.
3Tompalulira wamu n'ababi, N'abo abakola obutali butuukirivu; Aboogera eby'emirembe ne bannaabwe, Naye ettima nga liri mu mitima gyabwe.
4Obawe ng'emirimu gyabwe bwe giri era ng'obubi obw'ebikolwa byabwe: Obawe ng'emikono gyabwe bwe gikola; Obasasule bye basaanidde.
5Kubanga tebalowooza mirimu gya Mukama, Newakubadde emikono gye bye gikola, Alibamenyaamenya so talibazimba.
6Atenderezebwe Mukama, Kubanga awulidde eddoboozi ery'okwegayirira kwange.
7Mukama ge maanyi gange era ye ngabo yange; Omutima gwange gwamwesiganga oyo, ne mbeerwa: Omutima gwange kyeguva gusanyuka ennyo; Era naamutenderezanga n'oluyimba lwange.
8Mukama ge maanyi gaabwe, Era kye kiddukiro eky'obulokozi eri oyo gwe yasiiga amafuta.
9Lokola abantu bo, owenga omukisa ab'obusika bwo: Obaliisenga, obawanirirenga emirembe gyonna.