Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
11 verses
1Mumuwe Mukama, mmwe abaana b'abazira, Mumuwe Mukama ekitiibwa n'amaanyi.
2Mumuwe Mukama ekitiibwa erinnya lye kye lisaanira; Mumusinze Mukama mu butuukirivu obuwooma.
3Eddoboozi lya Mukama liri ku mazzi: Katonda ow'ekitiibwa abatuka, Ye Mukama, ku mazzi amangi.
4Eddoboozi lya Mukama lya maanyi; Eddoboozi lya Mukama lijjudde ekitiibwa.
5Eddoboozi lya Mukama limenya emivule; Weewaawo, Mukama amenyaamenya emivule gya Lebanooni.
6Era agizinyisa ng'ennyana; Lebanooni ne Siriyoni ng'ennyana y'embogo,
7Eddoboozi lya Mukama lyawula ennimi ez'omuliro.
8Eddoboozi lya Mukama likankanya eddungu; Mukama akankanya eddungu lya Kadesi.
9Eddoboozi lya Mukama lizaaza empeewo, Era likunkumulira ddala amabira, Era mu yeekaalu ye buli kintu kyogera nti Ekitiibwa.
10Mukama yatuula nga kabaka ku Mataba; Weewaawo, Mukama atuula nga kabaka emirembe gyonna.
11Mukama aliwa amaanyi abantu be; Mukama omukisa gw'aliwa abantu be gye mirembe.