Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
22 verses
1Musanyukire Mukama, mmwe abatuukirivu: Okutendereza kusaanira abalina omwoyo ogw'amazima.
2Mumwebaze Mukama n'ennanga: Muyimbe okumutendereza n'ennanga ey'engoye kkumi.
3Mumuyimbire oluyimba oluggya; Mukube ennanga n'amagezi n'eddoboozi ddene.
4Kubanga ekigambo kya Mukama kigolokofu; N'omulimu gwe gwonna (agukola) mu bwesigwa.
5Ayagala obutuukirivu n'amazima: Ensi ejjudde ekisa kya Mukama.
6Mu kigambo kya Mukama eggulu lyakolebwa; N'eggye lyamu lyonna (lyakolebwa) n'omukka ogw'akamwake.
7Amazzi ag'omu nnyanja agakuŋŋaanya ng'entuumo: Atereka amadubi mu mawanika.
8Ensi zonna zityenga Mukama: Bonna abali mu nsi zonna bamukankanirenga.
9Kubanga yayogera ne kikolebwa; Yalagira ne kinywera.
10Mukama aggyawo okuteesa kw'amawanga: Adibya ebirowoozo by'abantu.
11Okuteesa kwa Mukama kunywera ennaku zonna, N'ebirowoozo by'omutima gwe okutuusa emirembe gyonna.
12Eggwanga eririna Mukama okuba Katonda waalyo liweereddwa omukisa; Abantu be yalonda okuba obusika bwe ye.
13Mukama alengera ng'ayima mu ggulu; Atunuulira abaana b'abantu bonna;
14Ng'ayima mu kifo eky'ekisulo kye alaba Ku abo abali mu nsi bonna;
15Abumba emitima gyabwe bonna, Alowooza ebikolwa byabwe byonna.
16Tewali kabaka alokoka olw'eggye okuba eringi: Omuzira tawonyezebwa maanyi mangi.
17Embalaasi kye kintu ekitaliimu ku bulokozi: So teewonyenga muntu olw'amaanyi gaayo amangi.
18Laba, eriiso lya Mukama liri ku abo abamutya, Ku abo abasuubira mu kusaasira kwe;
19Okuwonyanga emmeeme yaabwe okufa, N'okubakuumanga abalamu mu njala.
20Emmeeme yaffe erindiridde Mukama: Oyo ye mubeezi waffe, era ye ngabo yaffe.
21Kubanga omutima gwaffe gunaasanyukira oyo, Kubanga twesize erinnya lye ettukuvu.
22Okusaasira kwo, ai Mukama, kubeerenga ku ffe, Nga ffe bwe tusuubira mu ggwe.