Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
22 verses
1Neebazanga Mukama mu biro byonna: Ettendo lye liri mu kamwa kange bulijjo.
2Emmeeme yange eneenyumiririzanga mu Mukama: Abawombeefu baliwulira, balisanyuka.
3Mumukuze Mukama wamu nange, Tugulumize erinnya lye fenna.
4Nanoonya Mukama, n'anziramu, N'andokola mu kutya kwange kwonna.
5Baamutunuulira, ne balaba omusana: Era amaaso gaabwe tegaakwatibwenga nsonyi emirembe gyonna.
6Omunaku ono yakoowoola, Mukama n'amuwulira, N'amulokola mu nnaku ze zonna.
7Malayika wa Mukama asiisira okwetooloola abo abamutya, N'abalokola.
8Mulege mutegeere Mukama nga mulungi: Aweereddwa omukisa oyo amwesiga.
9Mutyenga Mukama, mmwe abatukuvu be: Kubanga tebabulwa kintu abamutya.
10Obwana bw'empologoma bubulwa ne bulumwa enjala: Naye abanoonya Mukama tebaabulwenga kintu kirungi kyonna.
11Mujje, mmwe abaana abato, mumpulire: Naabayigirizanga okutya Mukama.
12Muntu ki ayagala obulamu, Era eyeegomba ennaku (ennyingi), alyoke alabe obulungi?
13Ziyizanga olulimi lwo mu bubi, N'emimwa gyo obutoogeranga bukuusa.
14Va mu bubi, okolenga obulungi; Noonyanga emirembe, ogigobererenga.
15Amaaso ga Mukama galaba abatuukirivu, N'amatu ge gawulira okukaaba kwabwe.
16Obwenyi bwa Mukama buba ku abo abakola obubi, Amalemu okujjukirwa kwabwe mu nsi.
17Abatuukirivu baakoowoola, Mukama n'awulira, N'abalokola mu nnaku zaabwe zonna.
18Mukama ali kumpi n'abo abalina omutima ogumenyese. Era awonya abalina omwoyo oguboneredde.
19Ebibonoobono eby'omutuukirivu bye bingi: Naye Mukama amulokola mu byonna.
20Akuuma amagumba ge gonna: Linnaago erimu terimenyeka.
21Obubi bulitta omubi: N'abo abakyawa omutuukirivu balisingibwa omusango.
22Mukama anunula emmeeme y'abaddu be: So tewali mu bo abamwesiga alisingibwa omusango.