Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
28 verses
1Wakana, ai Mukama, n'abo abawakana nange: Lwana n'abo abalwana nange.
2Kwata engabo n'akagabo, Oyimirire okunnyamba.
3Era sowola n'effumu, ozibire ekkubo abo abanjigganya: Ogambe emmeeme yange nti Nze bulokozi bwo.
4Bakwatibwe ensonyi baswazibwe abanjigganya emmeeme yange: Bazzibwe ennyuma beeraliikirizibwe abateesa okunkola obubi.
5Babeere ng'ebisusunku ebitwalibwa n'empewo, Era malayika wa Mukama ng'abagoba.
6Ekkubo lyabwe libeere ekizikiza n'obuseerezi. Era malayika wa Mukama ng'abayigganya.
7Kubanga awatali nsonga bankisizza mu bunnya ekyambika kyabwe, Awatali nsonga basimidde emmeeme yange.
8Okuzikirira kumujjeko nga talaba; N'ekyambika kye kye yakisa kimukwate ye yennyini: Akigwemu n'okuzikirira:
9N'emmeeme yange erisanyukira Mukama: Erijaguliza obulokozi bwe.
10Amagumba gange gonna galyogera nti Mukama, ani afaanana nga ggwe, Awonya omwavu eri oyo amusinga amaanyi, Awonya omwavu n'omunafu eri oyo amunyaga?
11Abajulirwa abatali batuukirivu bagolokose; Bambuuza ebigambo bye ssimanyi.
12Bansasula obubi ku lw'obulungi, Okweraliikiriza emmeeme yange.
13Naye nze, bwe baalwala, nayambala bibukutu: Ne nteganya emmeeme yange n'okusiiba; N'okusaba kwange ne kudda mu kifuba kyange.
14Ne mba nga bwe nnaakubadde, singa yali mukwano gwange oba muganda wange: Ne nkutama ne nnakuwala ng'afiiriddwa nnyina:
15Naye bwe nnawenyera nze, ne basanyuka, ne bakuŋŋaana: Abagwagwa ne bankuŋŋaanirako, ne ssimanya; Ne banjuza, ne batalekaayo:
16Ng'abo abatatya Katonda abaduula mu mbaga, Bwe baaluma obujigi bwe batyo, nga bansunguwalira.
17Mukama, olituusa wa okutunula obutunuzi? Wonya emmeeme yange mu kuzikiriza kwabwe, Kaganzi kange mu mpologoma.
18Ndikwebaliza mu kibiina ekinene: Ndikutenderereza mu bantu abangi.
19Abo abalabe bange baleme okunsanyukirako n'obulimba: Era abankyawa awatali nsonga baleme okutemya ekikowe.
20Kubanga teboogera mirembe: Naye bateesa ebigambo eby'obulimba ku abo abatereera mu nsi.
21Era banjasaamiririra ddala akamwa kaabwe; Ne boogera nti Ggwe, ggwe, eriiso lyaffe lyakiraba.
22Ggwe wakiraba, ai Mukama; tosirika: Ai Mukama, tombeera wala.
23Golokoka, ozuukuke okunsalira omusango, Era olw'ensonga yange, Katonda wange era Mukama wange.
24Onsalire omusango, ai Mukama Katonda wange, ng'obutuukirivu bwo bwe buli; So tobaganya kunsanyukirako;
25Baleme okwogera mu mutima gwabwe nti Bw'otyo bwe twagala bwe tutyo: Baleme okwogera nti Tumumize bugobo.
26Bakwatibwe ensonyi baswazibwe bonna abasanyukira nze okulaba akabi: Bambale ensonyi n'okunyoomebwa abanneegulumirizaako.
27Boogerere waggulu olw'essanyu, bajaguze, abayamba ensonga yange ey'obutuukirivu: Era boogerenga bulijjo eri Mukama agulumizibwe, Asanyukira omukisa ogw'omuddu we.
28N'olulimi lwange lunaayogeranga ku butuukirivu bwo, Ne ku ttendo lyo obudde okuziba.