Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
12 verses
1Ekyonoono ky'omubi kyogerera mu mutima gwange nti Tewali kutya Katonda mu maaso ge.
2Kubanga yeenyumiririza mu maaso ge ye, Ng'obutali butuukirivu bwe tebulirabika ne bukyayibwa.
3Ebigambo eby'akamwa ke bwe butali butuukirivu n'obulimba: Alese okuba n'amagezi n'okukola obulungi.
4Ateesa obutali butuukirivu ku kitanda kye; Yeeteeka mu kkubo eritali ddungi; Takyawa bubi.
5Ekisa kyo, ai Mukama, kiri mu ggulu Obwesige bwo bubuna ebbanga.
6Obutuukirivu bwo buli ng'ensozi za Katonda; Emisango gyo bwe buziba obunene: Ai Mukama, ggwe owonya abantu n'ebisolo.
7Ekisa kyo, ai Katonda, nga kya muwendo mungi! Era abaana b'abantu baddukira wansi w'ekisiikirize eky'ebiwaawaatiro byo.
8Banakkusibwanga ddala obugevvu obw'ennyumba yo. Era onoobanywesanga ku mugga ogw'essanyu lyo.
9Kubanga w'oli we wali oluzzi olw'obulamu: Mu musana gwo naffe mwe tunaalabiranga omusana.
10Kale yongera ekisa kyo eri abo abakumanya; N'obutuukirivu bwo eri abo abalina omutima ogw'amazima.
11Toganya kigere kya malala okunjijirako, Newakubadde omukono gw'omubi okungoba.
12Eri gye bagudde abakola obutali butuukirivu; Bameggeddwa wansi, so tebaayinzenga kuyimuka.