Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
40 verses
1Teweeraliikiriranga lw'abo abakola obubi, So tokwatibwanga buggya ku abo abakola ebitali bya butuukirivu.
2Kubanga balisalwa mangu ng'essubi, Baliwotoka ng'omuddo ogumera.
3Weesigenga Mukama, okolenga obulungi; Beeranga mu nsi, ogobererenga obwesigwa.
4Era sanyukiranga Mukama: Naye anaakuwanga omutima gwo bye gusaba.
5Olugendo lwo oluyiringisizenga ku Mukama; Era weesigenga oyo, naye anaakituukirizanga.
6Era anaayolesanga obutuukirivu bwo ng'omusana, N'omusango gwo ng'ettuntu.
7Sirika eri Mukama, omulindirirenga n'okugumiikiriza: Teweeraliikiriranga lw'oyo alaba ebirungi mu kkubo lye, Olw'omuntu atuukiriza enkwe ez'obubi.
8Lekanga obusungu, ovenga mu kiruyi: Teweeraliikiriranga; okwagala obwagazi okuleta obubi.
9Kubanga abakola obubi balizikirizibwa: Naye abalindirira Mukama abo be balisikira ensi.
10Kubanga waliba akaseera katono, n'omubi talibeerawo. Weewaawo, ekifo kye olikitunuulira ddala, naye talibeerawo.
11Naye abawombeefu balisikira ensi: Era banaasanyukiranga emirembe emingi.
12Omubi yeekoba ku mutuukirivu, Era aluma bujigi ng'amusunguwalidde.
13Mukama alimusekerera: Kubanga alaba ng'olunaku lwe lujja.
14Ababi basowodde ekitala, baleeze omutego gwabwe; Okusuula omwavu n'omunafu, Okutta abo abatambulira mu kkubo n'amazima.
15Ekitala kyabwe kirifumita omutima gwabwe bo, N'emitego gyabwe girimenyeka.
16Ebitono omutuukirivu by'alina Bisinga obugagga obw'ababi abangi.
17Kubanga emikono gy'ababi girimenyeka: Naye Mukama anyweza abatuukirivu.
18Mukama amanyi ennaku z'abo abatuukiridde: N'obusika bwabwe bunaabeeranga bwa mirembe gyonna.
19Tebaakwatibwenga nsonyi mu biro eby'akabi: Ne mu nnaku ez'enjala banakkutanga.
20Naye ababi balibula, N'abalabe ba Mukama baliba ng'ekisinga amasavu mu birundibwa: Balibula; balibulira ddala mu mukka.
21Omubi yeewola, n'atasasula nate: Naye omutuukirivu akola eby'ekisa, agaba.
22Kubanga abaweebwa omukisa gwe balisikira ensi; N'abo abakolimirwa ye balizikirizibwa.
23Olugendo olw'omuntu lunywezebwa Mukama; Era asanyukira ekkubo lye.
24Newakubadde ng'agwa, talisuulirwa ddala wansi: Kubanga Mukama amunyweza n'omukono gwe.
25Nali muto, kaakano nkaddiye; Naye , sirabanga mutuukirivu ng'alekeddwa, Newakubadde ezzadde lye nga basaba emmere.
26Obudde okuziba akola eby'ekisa, n'awola; N'ezzadde lye liweebwa omukisa.
27Ovenga mu bubi, okolenga obulungi; Obeerengawo emirembe n'emirembe.
28Kubanga Mukama ayagala ensonga, Era taleka batukuvu be; Bakuumibwa emirembe gyonna: Naye ezzadde ery'omubi lirizikirizibwa.
29Abatuukirivu balisikira ensi, Banaagibeerangamu emirembe gyonna.
30Akamwa k'omutuukirivu koogera eby'amagezi, N'olulimi lwe lubuulira ensonga.
31Amateeka ga Katonda we gabeera mu mutima gwe; Mu lugendo lwe lwonna taaseererenga.
32Omubi atunuulira omutuukirivu, Ng'ayagala okumutta.
33Mukama talimuleka mu mukono gwe, So talimusinza bw'alisalirwa omusango.
34Lindiriranga Mukama, okwatenga ekkubo lye, Naye alikugulumiza okusikira ensi: Ababi bwe balizikirizibwa oliraba.
35Nalaba omubi ng'alina obuyinza obungi, Era ng'agulumidde ng'omuti ogumeze ku ttaka lyagwo.
36Naye bwe baayita, laba, taliiwo: Era namunoonya, naye teyalabika.
37Weekalirizenga oyo atuukiridde, olabenga ow'amazima: Kubanga enkomerero ey'omuntu oyo mirembe.
38Aboonoonyi, bo balizikirizibwa bonna: Enkomerero ddala ey'omubi erizikirizibwa.
39Naye obulokozi obw'abatuukirivu buva eri Mukama: Oyo kye kigo kyabwe mu biro eby'okulabiramu ennaku.
40Era Mukama abayamba, n'abawonya: Abawonya eri ababi, n'abalokola, Kubanga beeyunye oyo.