Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
22 verses
1Ai Mukama, tonnenya mu busungu bwo: So tombuuliririra mu kiruyi kyo ekibuubuuka.
2Kubanga obusaale bwo bunkwatidde ddala, N'omukono gwo gunnyigirizza nnyo.
3Temuli bulamu mu mubiri gwange olw'okunyiiga kwo; So temuli kuwona mu magumba gange olw'okwonoona kwange.
4Kubanga obutali butuukirivu bwange buyiise ku mutwe gwange. Ng'omugugu omunene bunzitooweredde bunnemye.
5Ebiwundu byange biwunya era bivunze, Olw'obusirusiru bwange.
6Nnumiddwa, nkutamizibbwa nnyo; Ntambula nga nkaaba obudde okuziba.
7Kubanga ekiwato kyange kijjudde okwokya; So temuli bulamu mu mubiri gwange.
8Nnyongobera, mmenyesemenyese: Mpulugumye olw'okweraliikirira kw'omutima gwange.
9Mukama, bye njagala byonna biri mu maaso go; N'okusinda kwange tekukukisibwa.
10Omutima gwange guntundugga, amaanyi gange gampweddemu: Omusana ogw'amaaso gange, era nagwo gumbuze.
11Abanjagala ne mikwano gyange beewala ekibonoobono kyange; Ne baganda bange bayimirira wala.
12Era n'abo abanjigganya obulamu bwange banteega; N'abo abaagala nze okulaba akabi boogera eby'ettima, Era balowooza eby'obulimba obudde okuziba.
13Naye nze, ng'omuzibe w'amatu, ssiwulira; Era nninga omusiru atayasama kamwa ke.
14Mazima, nninga omuntu atawulira, Ne mu kamwa ke temuli kunenya.
15Kubanga eri ggwe, ai Mukama, gye nsuubira: Oliddamu, ai Mukama Katonda wange.
16Kubanga nayogera nti Baleme okunsanyukirako: Ekigere kyange bwe kiseerera, banneegulumirizaako.
17Kubanga nze ndi kumpi n'okuwenyera, N'ennaku zange ziri mu maaso gange bulijjo.
18Kubanga naayatulanga obutali butuukirivu bwange; Naanakuwalanga olw'okwonoona kwange.
19Naye abalabe bange balamu, balina amaanyi: N'abo abankyawa olw'obulimba beeyongedde.
20Era n'abo abasasula obubi olw'obulungi. Be balabe bange, kubanga ngoberera ebigambo ebirungi.
21Tondeka, ai Mukama: Ai Katonda wange, tombeera wala.
22Yanguwa okunnyamba, Ai Mukama, obulokozi bwange.