Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
17 verses
1Nalindirira Mukama n'okugumiikiriza; N'antegera okutu, n'ampulira okukaaba kwange.
2Era n'anziya mu bunnya obw'okuzikirira, mu bitositosi; N'ateeka ebigere byange ku lwazi, n'anyweza okugenda kwange.
3Era n'oluyimba oluggya alussizza mu kamwa kange, kwe kutendereza Katonda waffe: Bangi abanaalabanga, ne batya, Ne beesiga Mukama.
4Aweereddwa omukisa omuntu eyeesiga Mukama, N'atabassaamu ekitiibwa ab'amalala newakubadde abakyamira mu bulimba.
5Ebikolwa eby'ekitalo bye wakola, ai Mukama Katonda wange, bingi, N'ebirowoozo byo ebiri gye tuli: Tebiyinzika kukulongookera kinnakimu; Singa mbadde njagala okubibuulira n'okubyogerako, Tebibalika obungi.
6Ssaddaaka n'ebiweebwayo tobisanyukira; Amatu gange ogawulizza: Ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'ebibi tewabyagala.
7Ne ndyoka njogera nti Laba nzize; Mu muzingo ogw'ekitabo ekyampandiikwako:
8Nsanyuka okukola by'oyagala, ai Katonda wange; Weewaawo, amateeka go gali mu mutima gwange munda.
9Mbuulidde obutuukirivu mu kibiina ekinene; Laba, ssiibunizenga mimwa gyange, Ai Mukama, ggwe omanyi.
10Sikwekanga butuukirivu bwo mu mutima gwange munda; Mbuulidde obwesige bwo n'obulokozi bwo: Ekisa kyo n'amazima go sibikisanga ekibiina ekinene.
11Naawe, ai Mukama, tonnyima kusaasira kwo okulungi: Ekisa kyo n'amazima go binkuumenga ennaku zonna.
12Kubanga obubi obutabalika bunneetoolodde, Obutali butuukirivu bwange buntuuseeko n'okuyinza ne ssiyinza kutunula waggulu; Businga enviiri ez'oku mutwe gwange obungi, era omutima gwange gundese.
13Kkiriza, ai Mukama, okumponya: Yanguwa okunnyamba, ai Mukama.
14Bakwatibwe ensonyi baswazibwe bonna wamu. Abanoonya emmeeme yange okugizikiriza: Bazzibwe ennyuma banyoomebwe Abo abasanyukira nze okulaba akabi.
15Balekebwe olw'ensonyi zaabwe Abo abansooza.
16Bonna abakunoonya bakusanyukire bajaguze: Abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti Mukama agulumizibwe.
17Naye nze ndi mwavu, neetaaga; Mukama andowooza: Ggwe oli mubeezi wange era omulokozi wange; Tolwawo, ai Katonda wange.