Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
13 verses
1Aweereddwa omukisa oyo ajjukira omwavu: Mukama alimulokola ku lunaku olw'akabi.
2Mukama anaamukuumanga, anaamuwonyanga, era anaaweebwanga omukisa mu nsi; So tomuwangayo eri abalabe be okumukola bye baagala.
3Mukama anaamujjanjabanga ng'ayongobera ku kitanda: Ggwe olongooseza ddala ekiriri kye bw'alwala.
4Nayogera nti Ai Mukama, onsaasire: Omponye emmeeme yange: kubanga nnyonoonye ggwe.
5Abalabe bange banjogerako obubi nti Alifa ddi, erinnya lye ne libula?
6Era ne bw'ajja okundaba, ayogera ebitaliimu; Omutima gwe gwekuŋŋaanyiza obutali butuukirivu: Bw'ava mu nnyumba, abubuulira.
7Bonna abankyawa bangeyera wamu: Bateesa ebigambo okunkola akabi.
8Boogera nti Endwadde embi emukutte: Kaakano bw'agalamidde, tagenda kugolokoka nate.
9Era ne munnange mukwano gwange nze, gwe nneesiga, eyalyanga ku mmere yange, Ansitulidde ekisinziiro kye.
10Naye ggwe, ai Mukama, onsaasire, ongolokose, Ndyoke mbawalanire eggwanga.
11Kyenvudde mmanya ng'onsanyukira, Kubanga omulabe wange tampangula.
12Naye nze, onnyweza nze mu butuukirivu bwange, Era onteeka mu maaso go ennaku zonna.
13Atenderezebwenga Mukama, Katonda wa Isiraeri, Okuva mu mirembe gyonna okutuusa emirembe n'emirembe. Amiina, era Amiina.