Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
11 verses
1Ng'empeewo bw'ewejjawejja olw'amazzi, Bw'etyo n'emmeeme yange bw'ewejjawejja ku lulwo, ai Katonda.
2Emmeeme yange erumwa enjala ku lwa Katonda, ku lwa Katonda omulamu: Ndituuka ddi ne ndabika mu maaso ga Katonda?
3Amaziga gange ye mmere yange emisana n'ekiro, Bwe baŋŋamba obudde okuziba nti Katonda wo ali luda wa?
4Bino mbijjukira, ne nfuuka emmeeme yange munda yange, Bwe nnagenda n'ekibiina, ne mbatwala mu nnyumba ya Katonda, N'eddoboozi ery'essanyu n'ery'okutendereza, ekibiina ekyegendereza olunaku.
5Kiki ekikukutamizza, emmeeme yange? Kiki ekikweraliikiriza munda yange? Suubira eri Katonda: kubanga edda ndimutendereza Olw'obulamu obw'amaaso ge.
6Ai Katonda wange, emmeeme yange ekutamye munda yange: Kyenva nkujjuukirira mu nsi ya Yoludaani, Ne ku nsozi Kerumooni, ne ku kasozi Mizali,
7Obuziba bukoowoola obuziba amazzi go ageefuukuula bwe gayira: Amayengo go gonna n'amasingiisira go gampiseeko.
8Naye Mukama anaalagiranga ekisa kyo emisana, N'ekiro oluyimba lwe lunaabeeranga nange. Kwe kusaba Katonda ow'obulamu bwange.
9Ndigamba Katonda olwazi lwange nti Kiki ekikunneerabizza? Lwaki nze okugenda nga nkaaba olw'okujooga kw'omulabe?
10Ng'ekitala mu magumba gange, abalabe bange banvuma; Nga baŋŋamba obutayosa nti Katonda wo ali ludda wa?
11Kiki ekikukutamizza, emmeeme yange? Kiki ekikweraliikiriza munda yange? Suubira eri Katonda: kubanga edda ndimutendereza, Bwe bulamu obw'amaaso gange, era Katonda wange.