Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
9 verses
1Mukale mukube mu ngalo, mmwe amawanga gonna; Mwogerere waggulu eri Katonda n'eddoboozi ery'okuwangula.
2Kubanga Mukama ali waggulu ennyo wa ntiisa: Ye kabaka omukulu: afuga ensi zonna.
3Alijeemula abantu ne tubafuga, N'amawanga aligassa wansi w'ebigere byaffe.
4Alitulondera obusika bwaffe, Okuwooma kwa Yakobo gwe yayagala. (Seera)
5Katonda alinnye n'okwogerera waggulu, Mukama alinnye n'eddoboozi ery'akagombe.
6Muyimbe okutendereza Katonda, muyimbe okumutendereza; Muyimbe okutendereza Kabaka waffe, muyimbe okumutendereza:
7Kubanga Katonda ye Kabaka w'ensi zonna: Muyimbe okumutendereza n'amagezi.
8Katonda afuga amawanga: Katonda atuula ku ntebe ye entukuvu.
9Abalangira ab'amawanga bakuŋŋaanye. Okubeera abantu ba Katonda wa Ibulayimu: Kubanga engabo ez'ensi za Katonda; Agulumizibwa nnyo.