Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
14 verses
1Mukama mukulu, agwanira okutenderezebwa ennyo, Mu kibuga kya Katonda waffe, ku lusozi lwe olutukuvu.
2Olusozi Sayuuni lulungi mu kugulumira kwalwo, Lye ssanyu ery'ensi yonna, ku njuyi ez'obukiika obwa kkono, Ekibuga kya kabaka omukulu.
3Katonda yeetegeezezza mu mayumba gaakyo nga kye kiddukiro.
4Kubanga, laba, bakabaka baakuŋŋaana, Ne bayitamu wamu.
5Ne bakiraba, ne balyoka beewuunya; Ne batya, ne baanguwa okugenda.
6Ensisi n'ebakwatira omwo; N'okulumwa, ng'omukazi azaala.
7Omuyaga oguva ebuvanjuba Ogumenyesa amaato ag'e Talusiisi.
8Nga bwe twawuliranga, bwe twalaba bwe tutyo mu kibuga kya Mukama w'eggye, mu kibuga kya Katonda waffe: Katonda anaakinywezanga emirembe gyonna. (Seera)
9Twajjuukirira ekisa kyo, ai Katonda, Wakati mu yeekaalu yo.
10Ng'erinnya lyo bwe liri, ai Katonda, Ettendo lyo bwe liri bwe lityo okutuusa enkomerero y'ensi: Omukono gwo ogwa ddyo gujjudde obutuukirivu.
11Olusozi Sayuuni lusanyuke, Abawala ba Yuda bajaguze, Olw'emisango gyo.
12Mutambule okwetooloola Sayuuni, mukibunye: Mubale ebigo byakyo.
13Mwekalirize enkomera zaakyo. Mulowooze amayumba gaakyo; Mulyoke mubibuulire emirembe egigenda okujja.
14Kubanga Katonda oyo ye Katonda waffe emirembe n'emirembe: Ye anaabeeranga omusaale waffe okutuusa ku kufa.