Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
20 verses
1Kino mukiwulire, mmwe amawanga gonna; Mutege okutu, mmwe mwenna abali mu nsi:
2Abakopi era n'abakulu, Abagagga n'abaavu awamu.
3Akamwa kange kanaayogera amagezi; N'omutima gwange gunaalowooza eby'okumanya.
4Okutu kwange naakutegera olugero: Naabikkula ekigambo kyange ekizibu n'ennanga.
5Lwaki nze okutya mu nnaku ez'akabi, Obutali butuukirivu bwe buneetooloola ku bisinziiro byange?
6Abeesiga obugagga bwabwe, Ne beenyumiriza olw'ebintu byabwe ebingi;
7Mu abo siwali ayinza okununula muganda we n'akatono, Newakubadde okuwa Katonda omuwendo gwe:
8(Kubanga ekinunulo eky'emmeeme yaabwe kizibu, Era ekigwanira okulekebwanga emirembe gyonna:)
9Alyoke awangaalenga ennaku zonna, Alemenga okulaba okuvunda,
10Kubanga alaba ng'ab'amagezi bafa, Atamanyi n'omusirusiru bazikirira wamu, N'obugagga bwabwe ne babulekera abalala:
11lowooza munda ng'ennyumba zaabwe za nnaku zonna, Ebifo byabwe bya mirembe gyonna; Batuuma ensi zaabwe amannya gaabwe bo.
12Naye omuntu tabeerera mu kitiibwa: Ali ng'ensolo ezizikirira.
13Ekkubo lyabwe eryo bwe busirusiru bwabwe: Naye abantu ababaddirira basiima ebigambo byabwe: (Seera)
14Bateekerwawo magombe ng'ekisibo; Okufa kunaabeeranga omusumba waabwe: Ab'amazima banaabafuganga obudde bwe bulikya; N'obulungi bwabwe buliba obw'emagombe, okubulya, buleme okubeera n'ekifo eky'okutuulamu.
15Naye Katonda alinunula emmeeme yange mu maanyi ag'emagombe; Kubanga ye alinzikiriza. (Seera)
16Totyanga ggwe omuntu bw'agaggawala, Ekitiibwa eky'ennyumba ye bwe kyeyongera:
17Kubanga bw'alifa talitwala kintu: Ekitiibwa kye tekirikka kumugoberera:
18Newakubadde nga yayita emmeeme ye ey'omukisa bwe yali ng'akyali mulamu, Era abantu bakutendereza bwe weekolera wekka obulungi,
19Alikka mu mirembe gya bajjajja be; Tebaliraba musana nate.
20Omuntu alina ekitiibwa n’atategeera, Ali ng'ensolo ezizikirira.