Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
23 verses
1Katonda, Katonda, Mukama, ayogedde, N'ayita ensi okuva mu buvanjuba okutuuka mu bugwanjuba. Katonda amasamasizza.
2Okuva mu Sayuuni, obulungi obutuukiridde, Katonda amasamasizza.
3Katonda waffe alijja, so talisirika; Omuliro gulirya mu maaso ge, Omuyaga omungi gulimwetooloola.
4Alikoowoola eggulu waggulu, N'ensi, alyoke asalire abantu be omusango:
5Mukuŋŋaanye abatukuvu bange awamu we ndi; Abaalagaana nange endagaano n'essaddaaka.
6N'eggulu liribuulira obutuukirivu bwe; Kubanga Katonda ye mulamuzi yennyini. (Seera)
7Muwulire, abantu bange, nange naayogera; Ggwe Isiraeri, nange naakutegeeza; Nze Katonda, Katonda wo.
8Siikunenye lwa ssaddaaka zo; N'ebyokebwa byo biri mu maaso gange bulijjo.
9Siriggya seddume mu nnyumba yo. Newakubadde embuzi ennume mu bisibo byo.
10Kubanga buli nsolo ey'omu kibira yange, N'ente ez'oku nsozi lukumi.
11Ennyonyi zonna ez'oku nsozi nzimanyi: N'ensolo ez'omu nsiko zange.
12Singa nnumwa enjala, sandikubuulidde: Kubanga ensi yange, n'okujjula kwayo.
13Nze naalyanga ennyama eya seddume, Oba naanywanga omusaayi gw'embuzi?
14Owenga Katonda ssaddaaka ey'okwebaza; Osasulenga obweyamo bwo ali waggulu ennyo:
15Era onkoowoolenga ku lunaku olw'okulaba ennaku; Ndikuwonya, naawe olingulumiza nze!
16Naye omubi Katonda amugamba nti Ofaayo ki okubuulira amateeka gange, N'oyingiza endagaano yange mu kamwa ko?
17Kubanga okyawa okuyigirizibwa, N'ebigambo byange obisuula ennyuma wo.
18Bwe walaba omubbi walagaana naye, Era wassa ekimu n'abenzi.
19Owaayo akamwa ko eri obubi, N'olulimi lwo lukola eby'obulimba.
20Otuula ng'ovuma muganda wo; Era owaayiriza omwana wa nnyoko.
21Ebyo wabikola, nange ne nsirika; N'olowooza nga nenkanankanira ddala naawe: Naye ndikunenya, ne mbiteeka mu maaso go.
22Kale mulowooze kino, mmwe abeerabira Katonda, Nneme okubataagulataagula, okubulawo alibawonya:
23Buli ampa ssaddaaka ey'okwebaza angulumiza; Naye alongoosa obulungi ekkubo lye Ndimulaga obulokozi bwa Katonda.