Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
9 verses
1Lwaki okwenyumiriza mu ttima, ggwe omuzira? Okusaasira kwa Katonda kwa lubeerera.
2Olulimi lwo luteesa eby'obubi obwereere; Ng'akamwano ak'obwogi, lukola n'obulimba.
3Oyagala ebibi okusinga ebirungi, N'okulimba okusinga okwatula amazima. (Seera)
4Oyagala ebigambo byonna ebiruma, Ggwe olulimi olw'obulimba.
5Era ne Katonda bw'atyo anaakuzikirizanga emirembe gyonna, Alikusitula, alikukwakula, alikuggya mu weema yo, Alikusigula okuva mu nsi ey'abalamu. (Seera)
6Era n'abatuukirivu baliraba, balitya, Balimusekerera, nga boogera nti
7Laba, ye wuuyo ataafuula Katonda maanyi ge; Naye ne yeesiga obugagga bwe obungi, Ne yeenyweza mu bubi bwe.
8Naye nze nfaanana ng'omuzeyituuni oguloka ennyo mu nnyumba ya Katonda: Neesiga okusaasira kwa Katonda emirembe n'emirembe.
9Naakwebazanga ennaku zonna, kubanga ggwe wakola bw'otyo : Era naalindiriranga erinnya lyo, kubanga ddungi, mu maaso g'abatukuvu bo.