Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
6 verses
1Omusirisiru ayogedde mu mutima gwe nti Tewali Katonda. Bavunze, bakoze obubi obw'omuzizo; Tewali akola bulungi.
2Katonda yatunula ku baana b'abantu ng'ayima mu ggulu, Alabe nga waliwo abategeera, Abanoonya Katonda.
3Buli muntu mu abo azze ennyuma; bonna bagwagwawadde wamu; Tewali akola bulungi, tewali n'omu.
4Abakola obubi tebalina magezi? Abalya abantu bange, nga bwe balya emmere, Ne batakaabira Katonda.
5Awatali kya kutya we batiira ennyo: Kubanga Katonda asaasaanyizza amagumba g'oyo akukolako olusiisira; Obakwasizza ensonyi, kubanga Katonda yabagoba.
6Singa obulokovu bwa Isiraeri bulabise nga buvudde mu Sayuuni! Katonda bw'alikomyawo abantu be abaanyagibwa, Yakobo n'alyoka asanyuka, Isiraeri alijaguza.