Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
7 verses
1Ndokola, ai Katonda, n'erinnya lyo, Onsalire omusango mu maanyi go.
2Wulira okusaba kwange, ai Katonda; Otege okutu eri ebigambo eby'akamwa kange.
3Kubanga bannaggwanga bangolokokeddeko, N'ab'ekyejo banoonyezza emmeeme yange: Tebateese Katonda mu maaso gaabwe. (Seera)
4Laba, Katonda ye mubeezi wange: Mukama ali wamu n'abo abanyweza emmeeme yange.
5Aliwalana obubi obwo ku balabe bange: Obazikirize mu mazima go.
6Ssaddaaka ey'omwoyo ogw'eddembe gye ndikuwa ggwe: Neebazanga erinnya lyo, ai Mukama, kubanga ddungi.
7Kubanga anziye mu kweraliikirira kwonna; N'eriiso lyange lirabye bye njagala nga bituuse ku balabe bange.