Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
23 verses
1Tega okutu eri okusaba kwange, ai Katonda; So teweekweka obutawulira kwegayirira kwange.
2Mpulira, onziremu: Okwemulugunya kwange kunteganya, ne nsinda;
3Olw'eddoboozi ly'omulabe, Olw'okujooga kw'ababi; Kubanga bansuulako ebikolwa ebibi, Era banjigganya mu busungu.
4Omwoyo gunnuma nnyo munda yange: N'entiisa ey'okufa enguddeko.
5Okutya n'okukankana kuntuuseeko, N'okwekanga kunnumbye.
6Ne njogera nti Singa mbadde n’ebiwaawaatiro ng'ejjiba Nandibuuse, ne ŋŋenda, ne mpummula.
7Laba, nandikyamidde wala, Nandisuze mu ddungu. (Seera)
8Nandyanguye okudduka mu kiddukiro Okuva mu muyaga n'empewo ennyingi.
9Bazikirize, ai Mukama, oyawule ennimi zaabwe: Kubanga ndabye ettima n'okuyomba mu kibuga.
10Emisana n'ekiro batambulatambula ku bbugwe waakyo: Era obubi n'ettima biri wakati mu kyo.
11Okwonoona kuli wakati mu kyo: Okujooga n'obukuusa tebiva mu nguudo zaakyo.
12Kubanga omulabe si ye yanvuma; Nandiyinzizza okugumiikiriza: So si oyo eyankyawa eyanneegulumirizaako; Nandyekwese mu maaso ge:
13Wabula ggwe, muntu munnange, Eyatambula nange, mukwano gwange gwe namanyiira ennyo.
14Twateesanga ebigambo n'essanyu fembi, Twatambulanga mu nnyumba ya Katonda n'ekibiina.
15Okufa kubatuukeko nga tebalowooza, Bakke mu bunnya nga bakyali balamu: Kubanga obubi buli mu nnyumba yaabwe, mu bo wakati.
16Nze naakaabiriranga Katonda; Era Mukama anandokolanga.
17Akawungeezi n'enkya ne mu ttuntu neemulugunyanga ne nsindanga: Naye anaawuliranga eddoboozi lyange.
18Yanunula emmeeme yange mu mirembe mu lutalo olwali lugenda okunsinga: Kubanga abaali balwana nange bangi.
19Katonda aliwulira, alibaddamu, ye oyo abeerera edda n'edda lyonna, (Seera) Alibaddamu abo abatalaba biggya, Abatatya Katonda.
20Yagolola emikono gye ku abo abaali batabaganye naye: Yanyooma endagaano ye.
21Akamwa ke kaali kagonvu ng'omuzigo, Naye omutima gwe kulwana: Ebigambo bye byagonda okusinga amafuta, Naye byali bitala ebisowoddwamu.
22Gussenga omugugu gwo ku Mukama, naye anaakuwaniriranga: Taaganyenga abatuukirivu okujjulukuka ennaku zonna.
23Naye ggwe, ai Katonda, olibassa mu bunnya obw'okuzikirira: Abantu abaagala omusaayi n'ab'obulimba tebalimala kitundu kya nnaku zaabwe; Naye nze neesiganga ggwe.