Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
13 verses
1Onsaasire, ai Katonda; kubanga abantu baagala okummira nze: Bazibya obudde nga balwana nga banjooga.
2Abalabe bange baagala okummira obudde okuziba: Kubanga abalwana nange n'amalala bangi.
3Buli lwe nnaatyanga, Neesiganga ggwe.
4Mu Katonda ndyebaza ekigambo kye: Katonda gwe nneesize, siritya; Ab'omubiri bayinza kunkola ki?
5Bakyusa ebigambo byange okuzibya obudde: Ebirowoozo byabwe byonna bimbaako olw'obubi.
6Beekuŋŋaanya, beekweka, Bakebera ebisinde byange, Nga bwe baateega emmeeme yange.
7Baliwona olw'obutali butuukirivu? Mu busungu suula amawanga, ai Katonda.
8Ggwe obala okutambulatambula kwange: Oteeke amaziga gange mu kasumbi ko; Tegawandiikibwa mu kitabo kyo?
9Abalabe bange ne balyoka badda ennyuma ku lunaku lwe ndikaabiriramu: Kino kye mmanyi, nga Katonda ali ku lwange.
10Mu Katonda nditendereza ekigambo kye: Mu Mukama nditendereza ekigambo kye.
11Katonda gwe nneesize, siritya; Abantu bayinza okunkola ki?
12Ebirayiro byo biri ku nze, ai Katonda: Ndisasula ssaddaaka ez'okwebaza eri ggwe.
13Kubanga wawonya emmeeme yange okufa: Tewawonya bigere byange okwesittala? Ndyoke ntambule mu maaso ga Katonda mu musana ogw'abantu abalamu.