Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
17 verses
1Ondokole mu balabe bange, ai Katonda wange: Ongulumize eri abo abangolokokerako.
2Ondokole eri abo abakola obutali butuukirivu, Omponye eri abo abaagala omusaayi.
3Kubanga, laba, bateega emmeeme yange; Ab'amaanyi bakuŋŋaana okunnumba: Si lwa kyonoono kyange, so si lwa kibi kyange, ai Mukama.
4Baddukana, beeteekateeka nga sikoze bubi: Ozuukuke onnyambe, olabe.
5Ggwe, ai Mukama Katonda ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, Ogolokoke obuulirire amawanga gonna: Tosaasiranga muntu yenna omwonoonyi omubi. (Seera)
6Bakomawo akawungeezi, bakaaba ng'embwa, Beetooloola ekibuga.
7Laba, beebajjagala n'akamwa kaabwe; Ebitala biri mu mimwa gyabwe: Kubanga boogera nti Ani awulira?
8Naye ggwe, Mukama, olibasekerera; Oliduulira amawanga gonna.
9Ai amaanyi gange, naakulindiriranga ggwe: Kubanga Katonda kye kigo kyange ekiwanvu.
10Katonda ow'okusaasirwa kwange anankulemberanga: Katonda anandabyanga bye njagala nga bituuse ku balabe bange.
11Tobatta, abantu bange baleme okwerabira: Obasaasaanye n'amaanyi go, obatoowaze, Ai Mukama engabo yaffe.
12Olw'okwonoona kw'akamwa kaabwe, olw'ebigambo by'emimwa gyabwe, Bakwatibwe nga beenyumiriza, Era n'olw'okukolima n'obulimba bye boogera.
13Obazikirize mu busungu, obazikirize, balemenga okubaawo nate: Era bategeerenga nga Katonda afugira mu Yakobo, Okutuuka ku nkomerero z'ensi. (Seera)
14Era akawungeezi bakomewo, bakaabe ng'embwa, Beetooloole ekibuga.
15Balitambulatambula nga banoonya emmere, Balikeesa obudde bwe batalikkuta.
16Naye nze naayimbanga ku maanyi go; Weewaawo, naayimbiranga ddala ku kusaasira kwo enkya: Kubanga wali kigo kyange ekiwanvu, N'ekiddukiro ku lunaku olw'okutegana kwange.
17Ggwe, ai amaanyi gange, gwe nnaayimbiranga okukutendereza: Kubanga Katonda kye kigo kyange ekiwanvu, Katonda wa kusaasirwa kwange.