Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
12 verses
1Ai Katonda, otusudde, otumenyeemenye; Wasunguwala; otukomyewo, tukwegayiridde.
2Wakankanya ensi; wagyasa: Ozibe enjatika zaayo; kubanga eyuuga.
3Abantu bo obalaze ebigambo ebizibu: otunywesezza omwenge ogw'okutagatta.
4Owadde ebendera abo abakutya, Eyolesebwe olw'amazima. (Seera)
5Muganzi wo alyoke awonyezebwe, Lokola n'omukono gwo ogwa ddyo, otuddemu.
6Katonda yayogera mu butukuvu bwe; nti Ndijaguza: Ndisala mu Sekemu, era ndigabaagaba ekiwonvu ekya Sukkosi.
7Gireyaadi wange, era Manase wange; Efulayimu naye yakuuma omutwe gwange; Yuda gwe muggo gwange ogw'obwakabaka.
8Mowaabu kye kinaabirwamu kyange; Edomu ndimukasukira engatto yange: Ggwe Firisutiya, yogerera waggulu ku lwange.
9Ani alinnyingiza mu kibuga eky'amaanyi? Ani eyandeeta mu Edomu?
10Totusudde, ai Katonda? So totabaala, ai Katonda, n'eggye lyaffe.
11Otuyambe eri omulabe: Kubanga obuyambi bw'abantu tebuliimu.
12Katonda ye anaatukozanga eby'obuzira: Kubanga oyo ye anaalinnyiriranga ku balabe baffe.