Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
8 verses
1Owulire okukaaba kwange, ai Katonda; Olowooze okusaba kwange.
2Nga nnyima ku nkomerero z'ensi naakukoowoolanga; omutima gwange bwe gunaazirikanga: Onnuŋŋamye eri ejjinja erinsinga obugulumivu.
3Kubanga wali kiddukiro gye ndi, Ekigo eky'amaanyi eri omulabe.
4Naatuulanga mu weema yo emirembe gyonna: Neeyunanga ekisiikirize eky'ebiwaawaatiro byo. (Seera)
5Kubanga ggwe, ai Katonda, owulidde obweyamo bwange: Ompadde obusika bw'abo abaagala erinnya lyo.
6Olyongera ku nnaku ez'obulamu bwa kabaka: Emyaka gye giriba ng'emirembe emingi.
7Alibeerera mu maaso ga Katonda ennaku zonna: Kale teekateeka ekisa n'amazima, biryoke bimuwonye.
8Ne ndyoka nnyimba okutendereza erinnya lyo ennaku zonna; Ntuukirize buli lunaku obweyamo bwange.