Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
12 verses
1Emmeeme yange erindirira Katonda yekka: Oyo obulokozi bwange mwe buva.
2Ye yekka lye jjinja lyange era bwe bulokozi bwange: Kye kigo kyange ekiwanvu; sirisagaasagana nnyo.
3Mulituusa wa okulumba omuntu, Okumutta, mmwe mwenna, Ng'ekisenge ekyewunzise, ng'olukomera oluyuuguuma?
4Kino kyokka kye bateesa okumujeeza mu bukulu bwe; Basanyukira eby'obulimba: Boogera eby'omukisa n'akamwa kaabwe, naye bakolima munda.
5Emmeeme yange, lindiriranga Katonda yekka; Kubanga oyo okusubira kwange mwe kuva.
6Ye yekka lye jjinja lyange era bwe bulokozi bwange: Oyo kye kigo kyange ekiwanvu: sirisagaasagana.
7Awali Katonda we wali obulokozi bwange n'ekitiibwa kyange: Ejjinja ery'amaanyi gange n'ekiddukiro kyange biri mu Katonda.
8Mumwesige ye mu biro byonna, mmwe abantu; Mufuke omutima gwammwe mu maaso ge: Katonda kye kiddukiro gye tuli.
9Mazima abantu abatali ba kitiibwa gwe mukka, n'abo ab'ekitiibwa ekingi bwe bulimba: Bwe baliteekebwa mu kigera, baliyimuka; Bombiriri omukka gubasinga okuzitowa:
10Temwesiganga kujooga, Temugobereranga ebitaliimu mu kunyaga: Obugagga bwe buneeyongeranga, temubussangako mwoyo.
11Katonda yayogera omulundi gumu, Mpulidde bwe ntyo emirundi ebiri; Nga Katonda ye nannyini buyinza:
12Era ggwe, ai Mukama, olina okusaasira: Kubanga osasula buli muntu ng'omulimu gwe bwe guli.