Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
11 verses
1Ai Katonda, ggwe oli Katonda wange; naakeeranga okukunoonya. Emmeeme yange erumwa ennyonta eri ggwe, omubiri gwange gwegomba ggwe, Mu nsi enkalu ekooyesa, omutali mazzi.
2Bwe ntyo bwe nnakutunuuliranga mu watukuvu, Okulaba obuyinza bwo n'ekitiibwa kyo.
3Kubanga ekisa kyo kiwooma okusinga obulamu; Emimwa gyange ginaakutenderezanga.
4Bwe ntyo bwe nnaakwebazanga nga nkyali mulamu: Naayimusanga emikono gyange mu linnya lyo.
5Emmeeme yange enekkusibwanga ng'obusomyo n'amasavu; N'akamwa kange kanaakutenderezanga n'emimwa egisanyuka;
6Bwe nnaakujjuukiriranga ku kitanda kyange, Bwe nnaakulowoolezanga mu bisisimuka eby'ekiro.
7Kubanga wabeera mubeezi wange, Era mu kisiikirize eky'ebiwaawaatiro byo mwe nnaasanyukiranga.
8Emmeeme yange efuga okukugoberera: Omukono gwo ogwa ddyo gumpanirira.
9Naye abo abanoonya emmeeme yange okugizikiriza, Baligenda wansi w'ettaka.
10Baliweebwayo eri amaanyi ag'ekitala: Balibeera mugabo gwa bibe.
11Naye kabaka alisanyukira Katonda: Buli amulayira ye alyenyumiriza; Kubanga akamwa k'abo aboogera eby'obulimba kalizibibwa.