Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
10 verses
1Ai Mukama; tonnenya mu busungu bwo, So tombuulirira mu kiruyi kyo ekibuubuuka.
2Onsaasire, ai Mukama; kubanga mpotokedde ddala: Ai Mukama, omponye; kubanga amagumba gange geeraliikiridde.
3Era n'emmeeme yange yeeraliikiridde nnyo: Naawe, ai Mukama, olituusa wa?
4Komawo, ai Mukama, ondokole emmeeme yange: Omponye olw'ekisa kyo:
5Kubanga tewali akujuukirira mu kufa: Ani alikwebaliza mu magombe?
6Okusinda kwange kunkooyezza; Buli kiro nkulukusa ekiriri kyange; Ekitanda kyange nkitobya n'amaziga.
7Eriiso lyange likulukuse olw'okunakuwala; Likaddiye olw'abalabe bange bonna.
8Muveewo we ndi, mwenna abakola ebitali bituukirivu; Kubanga Mukama awulidde eddoboozi ly'okukaaba kwange.
9Mukama awulidde okwegayirira kwange; Mukama anakkirizanga okusaba kwange.
10Abalabe bange bonna baliswazibwa, balyeraliikirira nnyo: Balidda ennyuma, baliswazibwa mangu.