Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
17 verses
1Ai Mukama, Katonda wange, neesiga ggwe: Ondokole eri abo bonna abangoba, omponye:
2Aleme okutaagula emmeeme yange ng'empologoma, Okugitaagulataagula, nga tewali anamponya.
3Ai Mukama, Katonda wange, oba nga nakola bwe ntyo; Oba nga obutali butuukirivu buli mu mikono gyange;
4Oba nga namuwalana obubi eyali n'emirembe gye ndi; (Nedda, naye nawonya eyali omulabe wange obwereere:)
5Ankyawa ayigganye emmeeme yange, agituukeko: Anninnyirire obulamu bwange wansi mu ttaka, Asse ekitiibwa kyange mu nfuufu. (Seera)
6Golokoka, ai Mukama, mu busungu bwo, Weesimbe ku bukambwe obw'abalabe bange: Era onzuukukire; walagira omusango.
7Era ekkuŋŋaaniro ery'amawanga likwetooloole: Okomewo waggulu okubafuga
8Mukama aweereza omusango amawanga: Osale omusango gwange, ai Mukama, olw'obutuukiriw bwange n'amazima gange agali mu nze.
9Singa obubi obw'ababi buweddewo, naye abatuukirivu ggwe obanyweze: Kubanga Katonda ow'obutuukirivu ageza emitima n'emmeeme.
10Engabo yange eri ne Katonda, Alokola abalina omutima ogw'amazima.
11Katonda ye musazi w'emisango omutuukirivu, Era ye Katonda alina obusungu buli lunaku.
12Omuntu bw'atakyuka, aliwagala ekitala kye; Aleeze omutego gwe, aguteeseteese.
13Era amuteekeddeteekedde ebintu ebitta; Emisaale gye agiteekako omuliro.
14Laba, alina olubuto olw'obubi; Weewaawo, eggwako lye lye ttima, era azadde obulimba.
15Yakola obunnya, yabusima, Era agudde mu lusalosalo lwe yakola.
16Ettima lye liriddira ku mutwe gwe ye, N'ekyejo kye kirituuka ku bwezinge bwe.
17Neebazanga Mukama olw'obutuukirivu bwe: Naayimbanga okutendereza erinnya lya Mukama ali waggulu ennyo.