Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
9 verses
1Ai Mukama, Mukama waffe, Erinnya lyo nga ddungi nnyo mu nsi zonna! Ggwe eyateeka ekitiibwa kyo ku ggulu.
2Mu kamwa k'abawere n'abayonka wanyweza amaanyi, Olw'abalabe bo, Olyoke osirise omulabe n'oyo awalana eggwanga.
3Bwe ndowooza eggulu lyo, omulimu gw'engalo zo, Omwezi n'emmunyeenye, bye walagira;
4Omuntu kye kiki, ggwe okumujjukira, Oba omwana w'omuntu, ggwe okumujjira?
5Kubanga wamukola okubulako akatono okuba nga Katonda, Era omussaako engule ey'ekitiibwa n'ettendo.
6Wamufuza emirimu egy'emikono gyo; Wateeka ebintu byonna wansi w'ebigere bye:
7Endiga zonna n'ente, Era n'ensolo ez'omu nsiko;
8Ennyonyi eza waggulu, n'ebyennyanja ebiri mu nnyanja, Buli kintu ekiyita mu makubo ag'ennyanja.
9Ai Mukama, Mukama waffe, Erinnya lyo nga ddungi nnyo mu nsi zonna!