Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
20 verses
1Neebazanga Mukama n'omutima gwange gwonna; Naayolesanga ebikolwa byo eby'ekitalo byonna.
2Naasanyukanga naajagulizanga mu ggwe: Naayimbanga okutendereza erinnya lyo, ggwe ali waggulu ennyo.
3Abalabe bange bwe badda ennyuma, Beesittala ne bazikirira mu maaso go.
4Kubanga ggwe wayamba ensonga yange n'ebigambo byange; Watuula ku ntebe, ng'osala omusango ogw'ensonga.
5Waboggolera amawanga, wazikiriza ababi, Wasangula erinnya lyabwe emirembe n'emirembe.
6Abalabe baweddewo, baviibwamu emirembe egitaggwaawo; N'ebibuga bye wamenya. Era n'ekijjukizo kyabyo kizikiridde.
7Naye Mukama atuula kabaka emirembe egitaggwaawo: Ateeseteese entebe ye okusala omusango.
8Naye alisala omusango ogw'ensi zonna mu butuukirivu, Aliwa omusango amawanga mu mazima.
9Era Mukama anaabeeranga kigo ekiwanvu eri abayigganyizibwa, Ekigo ekiwanvu mu biro eby'ennaku;
10N'abo abamanyi erinnya lyo baneesiganga ggwe; Kubanga ggwe, Mukama, tonnabaleka abakunoonya.
11Muyimbe okutendereza Mukama, atuula mu Sayuuni: Mubuulire ebikolwa bye mu bantu.
12Kubanga oyo avunaana omusaayi abajjukira: Teyeerabira kukaaba kw'abaavu.
13Onsaasire, ai Mukama; Laba okubonaabona kwange kwe bankola abankyaye, Ggwe annyimusa ku miryango egy'olumbe;
14Ndyoke njolesenga ettendo lyo lyonna: Mu miryango egy'omuwala wa Sayuuni Naasanyukiranga obulokozi bwo.
15Amawanga gagudde mu bunnya bwe baasima: Mu kyambika kye baatega ekigere kyabwe mwelukwatiddwa:
16Mukama yeetegeezezza, atuukirizza omusango: Omubi akwatibwa mu mirimu gy'emikono gye. (Kiggayoni. Seera
17Ababi balidda mu magombe. Ge mawanga gonna ageerabira Katonda.
18Kubanga abaavu tebeerabirwenga ennaku zonna, So essuubi ery'abawombeefu teriibulenga emirembe gyonna.
19Golokoka, ai Mukama; abantu balemenga okuwangula: Amawanga gasalirwe omusango mu maaso go.
20Obatiise, ai Mukama: Amawanga geetekeere nga bantu buntu. (Seera)