Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
18 verses
1Kiki ekikuyimirizisizza ewala, ai Mukama? Kiki ekikwekwesezza mu biro eby'ennaku?
2Mu malala ag'omubi omwavu ayigganyizibwa nnyo: Bakwatibwe mu nkwe ze baateesa.
3Kubanga omubi yeenyumiriza olw'okwegomba kw'omutima gwe, N'omukodo yeegaana, era anyooma Mukama.
4Omubi mu malala ag'amaaso ge ayogera nti Talivunaana. Ebirowoozo bye byonna nti Tewali Katonda.
5Amakubo ge makakanyavu ennaku zonna; Emisango gyo giri waggulu nnyo gy'atayinza kugirabira: Abalabe be bonna abasooza.
6Ayogera mu mutima gwe nti Sirisagaasagana: Okutuusa emirembe gyonna siriraba nnaku.
7Akamwa ke kajjudde okukolima n'okulimba n'okujooga: Wansi w'olulimi lwe waliwo ettima n'obutali butuukirivu:
8Atuula mu mateegero ag'ebyalo: Mu bwekweko atta abatalina misango: Amaaso ge agatunuuliza ku munafu mu kyama.
9Yeekweka mu tteegero ng'empologoma mu mpuku yaayo: Yeekisa okukwata omwavu: Akwatira ddala omwavu, ng'amuwalulira mu kyambika kye.
10Akutama, akootakoota, Abasajja be ab'amaanyi ne basuula abanafu.
11Ayogera mu mutima gwe nti Katonda yeerabidde: Akweka amaaso ge; tagenda kukiraba.
12Golokoka, ai Mukama; ai Katonda oyimuse omukono gwo: Teweerabira mwavu.
13Lwaki omubi okunyoomanga Katonda, N'okwogera mu mutima gwe nti Tolivunaana?
14Walaba; kubanga otunuulira ettima n'obukyayi, okussaako omukono gwo: Omunafu yeewaayo gy'oli; Wabanga omubeezi w'abo abataliiko kitaabwe.
15Menya omukono gw'omubi; Omuntu omubi onoonyeze ddala obubi bwe okutuusa obutabusangamu.
16Mukama ye kabaka emirembe n'emirembe: Amawanga gazikiridde mu nsi ye.
17Mukama, wawulira abawombeefu kye bayagala: Onooteekateekanga omutima gwabwe, onoowulizanga okutu kwo:
18Okusalira omusango abataliiko kitaabwe n'abajoogebwa. Omuntu, ye w'omu nsi, aleke okubeera n'entiisa.