Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
7 verses
1Mukama gwe nneesiga: Mugamba mutya emmeeme yange nti Ddukira ku lusozi lwammwe ng'ennyonyi?
2Kubanga, laba, ababi batega omutego, Bateekateeka akasaale ku lugoye, Balasize mu nzikiza abalina omutima ogw'amazima.
3Oba nga emisingi girizikirizibwa, Kiki omutuukirivu ky'ayinza okukola?
4Mukama ali mu yeekaalu ye entukuvu, Mukama, entebe ye eri mu ggulu; Amaaso ge galaba abaana b'abantu, ebikowe bye bibakema.
5Mukama akema abatuukirivu: Naye omubi n'oyo ayagala eby'amaanyi emmeeme ye ebakyawa.
6Ku babi anaatonnyesanga ebyambika; Omuliro n'ekibiriiti n'empewo ezookya binaabeeranga omugabo ogw'ekikompe kyabwe.
7Kubanga Mukama mutuukirivu; ayagala eby'obutuukirivu: Abalina omwoyo ogw'amazima baliraba amaaso ge.