Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
8 verses
1Yamba, Mukama; kubanga atya Katonda aggwaawo; Kubanga abakkiriza bakendeera mu baana b'abantu.
2Boogera ebitaliimu buli muntu ne munne: Boogera n'emimwa eginyumiriza n'emitima ebiri:
3Mukama alimalawo emimwa gyonna eginyumiriza, N'olulimi olwogera ebikulu:
4Aboogedde nti N'olulimi lwaffe tuliwangula; Emimwa gyaffe gye gyaffe: atufuga ye ani?
5Olw'okunyagibwa kw'abaavu, olw'okusinda kw'abanafu, Kaakano naagolokoka, Mukama bw'ayogera; Naamuteeka mu mirembe gwe basooza.
6Ebigambo bya Mukama bye bigambo ebirongoofu; Nga ffeeza egezebwa mu kyoto ku nsi, Erongoosebwa emirundi omusanvu.
7Onoobakuumanga, ai Mukama, Onoobawonyanga mu mirembe gino ennaku zonna.
8Ababi batambula ku njuyi zonna, Obugwagwa bwe bugulumizibwanga mu baana b'abantu.